Add parallel Print Page Options

32 (A)Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.”

33 (B)Naye Mukama n’agamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange.

Read full chapter

20 (A)Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”

Read full chapter

Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.

Read full chapter

(A)Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.

Read full chapter