Add parallel Print Page Options

Ekyoto eky’Ekiweebwayo Ekyokebwa

38 Yazimba ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa mu miti gy’akasiya, mita emu ne desimoolo ssatu obugulumivu, ne mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. (A)Ku nsonda zaakyo ennya yakolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe yabibajja bumu mu nduli y’omuti emu. Ekyoto kyonna n’alyoka akibikkako ekikomo. (B)Ate n’akola eby’okukozesa ku kyoto: ensaka, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni. Ebyo byonna yabikola mu kikomo. Ekyoto yakikolera ekitindiro eky’obutimba obw’ekikomo, n’akireebeeseza ku mukiikiro gw’ekyoto, n’akissa mu kyoto okutuuka mu makkati gaakyo. N’akola empeta nnya ku nsonda ennya ez’ekitindiro ky’ekikomo nga ze z’okuwanirira emisituliro. Emisituliro gino yagibajja mu muti gwa akasiya, n’agibikkako ekikomo. N’asonseka emisituliro egyo ng’agiyisa mu mpeta mu mbiriizi z’ekyoto, gikozesebwenga ng’ekyoto kisitulwa. Yakikola n’embaawo nga wakati kya muwulukwa.

(C)N’akola ebbensani ey’ekikomo n’akameeza kaayo, bye yaweesa okuva mu ndabirwamu ez’ekikomo ezaagabwa abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Oluggya lw’Eweema ya Mukama

Ekyaddirira, yakola oluggya. Ku luuyi olw’obukiikaddyo, oluggya lwali obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, nga lulina amagigi aga linena omulungi omulebevu alangiddwa, 10 n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo mwe bituula ez’ekikomo amakumi abiri, nga kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11 Ne ku luuyi olw’obukiikakkono oluggya lwali obuwanvu mita ana mu mukaaga, n’ebikondo amakumi abiri, n’ebikolo byabyo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro gyako gyali gya ffeeza.

12 Ku luuyi olw’ebugwanjuba oluggya lwali lwa mita amakumi abiri mu bbiri, ne desimoolo ttaano nga luliko entimbe, n’ebikondo kkumi, n’entobo kkumi; n’amalobo n’emikiikiro nga bya ffeeza. 13 Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba oluggya lwali obugazi mita amakumi abiri mu bbiri n’obutundu butaano. 14 Ku ludda olumu olw’omulyango kwaliko amagigi obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 15 Ne ku ludda olulala olw’omulyango nakwo kwaliko entimbe obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, era n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 16 Entimbe zonna okwebungulula oluggya zaali za linena omulungi omulebevu alangiddwa. 17 Entobo z’ebikondo zaali za kikomo, naye amalobo n’emikiikiro gyako nga bya ffeeza, ne ku mitwe gyabyo nga kubikkiddwako ffeeza; bwe bityo ebikondo byonna eby’omu luggya byaliko emikiikiro gya ffeeza.

18 Olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya lwakolebwa mu linena omulungi omulebevu alangiddwa obulungi, nga lutungiddwamu amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu. Lwali luweza obuwanvu mita mwenda n’obugulumivu mita bbiri n’obutundu busatu, ng’entimbe ez’oluggya bwe zaali. 19 Lwalina empagi nnya, n’entobo zaazo nnya nga za kikomo, n’amalobo gaazo n’emikiikiro nga bya ffeeza, ne kungulu kwonna ne kubikkibwako ffeeza. 20 (D)Enkondo zonna ez’Eweema ya Mukama n’okwebungulula oluggya zaali za kikomo.

Ebyakozesebwa ku Weema ya Mukama

21 (E)Bino bye bintu byonna ebyakozesebwa ku Weema, Eweema ya Mukama ey’Obujulizi, nga Musa bwe yalagira okubibala bikozesebwe Abaleevi nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 22 (F)Bezaaleeri, mutabani wa Uli muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda, n’akola ebyo byonna Mukama bye yalagira Musa; 23 (G)baakolera wamu ne Okoliyaabu, mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu ennyo mu kwola ne mu kutetenkanya, n’okutunga amajjolobera mu linena ennungi endebevu ennange n’ewuzi eza bbululu ne kakobe ne myufu. 24 (H)Zaabu yenna eyali aweereddwayo eri Mukama, eyakozesebwa mu kuzimba ekifo ekitukuvu, yali nga ttani emu, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli.

25 (I)Ne ffeeza eyaweebwayo abaabalibwa nga bava mu kibiina mu kubala abantu, yali wa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. 26 (J)Noolwekyo, buli muntu yawangayo gulaamu ttaano ne desimoolo ttaano ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli ng’aweebwayo abo abaabalibwa nga bava ku myaka egy’obukulu amakumi abiri n’okweyongerayo, bonna baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 27 (K)Ffeeza ow’obuzito bwa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina ye yasaanuusibwa okukolamu entobo ekikumi ez’Awatukuvu n’eggigi: noolwekyo, nga buli kilo amakumi asatu mu nnya zikola entobo emu. 28 Kilo amakumi asatu ezaasigalawo zaakolwamu amalobo ag’oku bikondo n’emikiikiro gyabyo, n’okubikka ku mitwe gy’ebikondo.

29 Ekikomo ekyaweebwayo eri Mukama kyali kilo enkumi bbiri mu ebikumi bina. 30 Omwo Bezaaleeri mwe yakola ekituurwamu eky’omulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto eky’ekikomo, n’ekitindiro eky’obutimba eky’ekikomo, n’ebikozesebwa ebirala byonna eby’ekyoto, 31 n’ekituurwamu okwebungulula oluggya, n’ekituurwamu eky’omulyango omunene ogw’oluggya, n’enkondo zonna ez’Eweema ya Mukama, n’enkondo zonna okwebungulula oluggya.

The Altar of Burnt Offering(A)

38 They[a] built the altar of burnt offering of acacia wood, three cubits[b] high; it was square, five cubits long and five cubits wide.[c] They made a horn at each of the four corners, so that the horns and the altar were of one piece, and they overlaid the altar with bronze.(B) They made all its utensils(C) of bronze—its pots, shovels, sprinkling bowls, meat forks and firepans. They made a grating for the altar, a bronze network, to be under its ledge, halfway up the altar. They cast bronze rings to hold the poles for the four corners of the bronze grating. They made the poles of acacia wood and overlaid them with bronze. They inserted the poles into the rings so they would be on the sides of the altar for carrying it. They made it hollow, out of boards.

The Basin for Washing

They made the bronze basin(D) and its bronze stand from the mirrors of the women(E) who served at the entrance to the tent of meeting.

The Courtyard(F)

Next they made the courtyard. The south side was a hundred cubits[d] long and had curtains of finely twisted linen, 10 with twenty posts and twenty bronze bases, and with silver hooks and bands on the posts. 11 The north side was also a hundred cubits long and had twenty posts and twenty bronze bases, with silver hooks and bands on the posts.

12 The west end was fifty cubits[e] wide and had curtains, with ten posts and ten bases, with silver hooks and bands on the posts. 13 The east end, toward the sunrise, was also fifty cubits wide. 14 Curtains fifteen cubits[f] long were on one side of the entrance, with three posts and three bases, 15 and curtains fifteen cubits long were on the other side of the entrance to the courtyard, with three posts and three bases. 16 All the curtains around the courtyard were of finely twisted linen. 17 The bases for the posts were bronze. The hooks and bands on the posts were silver, and their tops were overlaid with silver; so all the posts of the courtyard had silver bands.

18 The curtain for the entrance to the courtyard was made of blue, purple and scarlet yarn and finely twisted linen—the work of an embroiderer. It was twenty cubits[g] long and, like the curtains of the courtyard, five cubits[h] high, 19 with four posts and four bronze bases. Their hooks and bands were silver, and their tops were overlaid with silver. 20 All the tent pegs(G) of the tabernacle and of the surrounding courtyard were bronze.

The Materials Used

21 These are the amounts of the materials used for the tabernacle, the tabernacle of the covenant law,(H) which were recorded at Moses’ command by the Levites under the direction of Ithamar(I) son of Aaron, the priest. 22 (Bezalel(J) son of Uri, the son of Hur, of the tribe of Judah, made everything the Lord commanded Moses; 23 with him was Oholiab(K) son of Ahisamak, of the tribe of Dan—an engraver and designer, and an embroiderer in blue, purple and scarlet yarn and fine linen.) 24 The total amount of the gold from the wave offering used for all the work on the sanctuary(L) was 29 talents and 730 shekels,[i] according to the sanctuary shekel.(M)

25 The silver obtained from those of the community who were counted in the census(N) was 100 talents[j] and 1,775 shekels,[k] according to the sanctuary shekel— 26 one beka per person,(O) that is, half a shekel,[l] according to the sanctuary shekel,(P) from everyone who had crossed over to those counted, twenty years old or more,(Q) a total of 603,550 men.(R) 27 The 100 talents of silver were used to cast the bases(S) for the sanctuary and for the curtain—100 bases from the 100 talents, one talent for each base. 28 They used the 1,775 shekels to make the hooks for the posts, to overlay the tops of the posts, and to make their bands.

29 The bronze from the wave offering was 70 talents and 2,400 shekels.[m] 30 They used it to make the bases for the entrance to the tent of meeting, the bronze altar with its bronze grating and all its utensils, 31 the bases for the surrounding courtyard and those for its entrance and all the tent pegs for the tabernacle and those for the surrounding courtyard.

Footnotes

  1. Exodus 38:1 Or He; also in verses 2-9
  2. Exodus 38:1 That is, about 4 1/2 feet or about 1.4 meters
  3. Exodus 38:1 That is, about 7 1/2 feet or about 2.3 meters long and wide
  4. Exodus 38:9 That is, about 150 feet or about 45 meters
  5. Exodus 38:12 That is, about 75 feet or about 23 meters
  6. Exodus 38:14 That is, about 22 feet or about 6.8 meters
  7. Exodus 38:18 That is, about 30 feet or about 9 meters
  8. Exodus 38:18 That is, about 7 1/2 feet or about 2.3 meters
  9. Exodus 38:24 The weight of the gold was a little over a ton or about 1 metric ton.
  10. Exodus 38:25 That is, about 3 3/4 tons or about 3.4 metric tons; also in verse 27
  11. Exodus 38:25 That is, about 44 pounds or about 20 kilograms; also in verse 28
  12. Exodus 38:26 That is, about 1/5 ounce or about 5.7 grams
  13. Exodus 38:29 The weight of the bronze was about 2 1/2 tons or about 2.4 metric tons.