Add parallel Print Page Options

(A)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.

Read full chapter

46 (A)Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira.

Read full chapter

(A)Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, n’amwako enviiri ze, n’anaaba mu mazzi, n’abeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ng’asula bweru wa weema ye.

Read full chapter

(A)“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu.

Read full chapter

12 (A)Kinaamusaaniranga okwerongoosa n’amazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, olwo n’alyoka abeera omulongoofu. Naye bw’ateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, taabenga mulongoofu.

Read full chapter