Add parallel Print Page Options

(A)era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”

Read full chapter

26 (A)Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ 27 (B)Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza.

Read full chapter

Okunnyonnyolanga Abaana Amateeka

20 (A)“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki?

Read full chapter

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

(A)Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.

Read full chapter

(A)Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.

Read full chapter