Add parallel Print Page Options

11 (A)Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti?

Read full chapter

Abantu Bajeema

14 Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka. (A)Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?” (B)Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.”

Read full chapter

16 (A)Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,”

Read full chapter