Add parallel Print Page Options

30 (A)Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.

Read full chapter

(A)“ ‘Bw’onooleetanga emigaati egifumbiddwa mu oveni nga kye kiweebwayo, ginaabanga emigaati egikoleddwa mu buwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni nga tegiriimu kizimbulukusa, oba bunaabanga obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kitegekeddwa ku lukalango, kinaakolebwanga mu buwunga obulungi obutaliimu kizimbulukusa nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Onookimenyaamenyanga mu butundutundu, n’okifukako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekyo kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. (B)Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kyakufumbirwa mu fulampeni, kinaateekebwateekebwanga mu buwunga obulungi n’amafuta ag’omuzeeyituuni.

Read full chapter

20 (A)“Kino ky’ekiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta ag’omuzeeyituuni: ekitundu eky’ekkumi ekya liita bbiri, nga kilo emu ey’obuwunga obulungi, nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kisalirwa wakati ekitundu ekimu, enkya, n’ekitundu ekirala, akawungeezi. 21 (B)Bunaafumbibwanga n’amafuta ag’omuzeeyituuni ku fulampeni, ne butabulwa bulungi, ne buweebwayo eri Mukama nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 22 Kabona ow’omu baana ba Alooni anaabanga afukiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni okumusikira, y’anaakiwangayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira emirembe gyonna; ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga. 23 Buli kiweebwayo kyonna eky’emmere ey’empeke kabona ky’anaawangayo kinaayokebwanga bulambalamba; tekiiriibwenga.”

Read full chapter

35 “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 36 (A)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.

Read full chapter