Add parallel Print Page Options

(A)Awo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”

Katonda n’agamba Musa nti, “Nze Mukama. (B)Nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti Nze Mukama. (C)Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze. (D)Kaakano mpulidde okusinda kw’abaana ba Isirayiri abatuntuzibwa Abamisiri mu buddu, ne nzijukira endagaano yange.

(E)“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango. (F)Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri. (G)Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze Mukama.’ ”

Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.

10 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 11 “Genda otegeeze Falaawo kabaka w’e Misiri aleke abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.”

12 (H)Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?” 13 Naye Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni, n’abalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri.

Obuzaale bwa Musa ne Alooni

14 (I)Gano ge mannya aga bajjajjaabwe ab’omu bika byabwe:

Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:

Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi.

15 (J)Batabani ba Simyoni:

Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani).

Abo be b’omu mu bika bya Simyoni.

16 (K)Gano ge mannya ga batabani ba Leevi ng’emirembe bwe giri:

Gerusoni ne Kokasi ne Merali.

Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

17 (L)Batabani ba Gerusoni be bano mu bika byabwe:

Libuni ne Simeeyi.

18 (M)Bano be batabani ba Kokasi:

Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri.

Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.

19 (N)Bano be batabani ba Merali:

Makuli ne Musi.

Abo be b’omu bika bya Leevi ng’emirembe gyabwe bwe gyali.

20 (O)Amulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa.

Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

21 (P)Bano be baana ba Izukali:

Koola ne Nefega ne Zikiri.

22 (Q)Abaana ba Wuziyeeri be bano:

Misayeri ne Erizafani ne Sisiri.

23 (R)Alooni n’awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu era nga ye mwannyina wa Nakayisoni. Yamuzaalira abaana bano: Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.

24 (S)Bano be baana ba Koola:

Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu.

Abo be b’omu kika kya Abakoola.

25 (T)Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi.

Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo.

26 (U)Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isirayiri bonna mu nsi y’e Misiri.” 27 Be bo abaayogera ne Falaawo, kabaka w’e Misiri, ku by’okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri. Ye Musa oyo, ne Alooni oyo.

28 Ku lunaku olwo Mukama kwe yayogerera ne Musa mu nsi y’e Misiri, 29 (V)Mukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka w’e Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.” 30 (W)Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”