Add parallel Print Page Options

(A)Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”

Read full chapter

13 (A)Wayogera mu mutima gwo nti,
    “Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
    okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
    ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 (B)ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
    ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”

Read full chapter

16 (A)Entiisa gy’oleeta
    n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
    mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
    ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter