Add parallel Print Page Options

17 (A)Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu.

Read full chapter

(A)Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.”

Read full chapter

15 Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira[a]. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota. 16 (A)Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ 17 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 18 (C)n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”

Read full chapter

Footnotes

  1. 7:15 Kiyira Falaawo yagendanga okusinza lubaale w’Omugga Kiyira (kitaawe wa balubaale). Noolwekyo okukwata ku Kiyira, kyali nga kukwata mu liiso lya Misiri lyennyini.