Add parallel Print Page Options

(A)Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.

Read full chapter

(A)Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze.

Read full chapter

(A)“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”

Read full chapter

(A)Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”

Read full chapter

(A)N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’

Read full chapter

Yoswa Alondebwa Okusikira Musa

12 (A)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri.

Read full chapter

22 (A)n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.

Read full chapter

27 (A)Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.

Read full chapter

Isirayiri n’Amawanga Amalala

(A)Mukama Katonda wo bw’akutuusanga mu nsi mw’ojja okuyingira, ogyetwalire okuba obutaka bwo, nga n’amawanga mangi amaze okugagobamu, n’amawanga gano omusanvu agakusinga obunene n’amaanyi: Abakiiti, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi,

Read full chapter

49 (A)“Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.

Read full chapter