Add parallel Print Page Options

(A)Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.

Read full chapter

Okuyitibwa kwa Ibulaamu

12 (A)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.

(B)“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
    era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
    olyoke obeere mukisa.
(C)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
    era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
    mwe galiweerwa omukisa.”

(D)Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano.

Read full chapter

(A)Suteefano n’addamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’akyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani. (B)N’amugamba nti, ‘Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’

(C)“Bw’atyo n’ava mu nsi y’Abakuludaaya n’abeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda n’amuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano.

Read full chapter