Add parallel Print Page Options

10 (A)Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. 11 Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. 12 (B)Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. 13 (C)Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.

Read full chapter

Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.

Read full chapter