Olubereberye 16:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti,
“Laba, olina omwana mu nda yo,
aliba wabulenzi,
olimutuuma Isimayiri,
kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.
Olubereberye 31:42
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
42 (A)Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona n’okutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”
Read full chapter
Okuva 4:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Mukama yakyalira abaana ba Isirayiri, n’alaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 26:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna.
Read full chapter
Zabbuli 25:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.