Olubereberye 17:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba.
Read full chapter
Olubereberye 21:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira.
Read full chapter
Yokaana 7:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 7:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Era n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.
Read full chapter
Abaruumi 4:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Akabonero ke yafuna ak’okukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olw’okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja w’abo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.