Add parallel Print Page Options

25 (A)Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”

Read full chapter

Okwemulugunya kwa Yeremiya

12 (A)Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
    bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
    Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
    Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?

Read full chapter

17 “Naye ate abantu ab’ensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya.

Read full chapter

(A)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
    era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
    era buli lukya talemwa;
    naye atali mutuukirivu taswala.

Read full chapter

Olunaku olw’Okusala Omusango

17 (A)Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe.

Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?”

Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”

Read full chapter

13 (A)“Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera Mukama.

“Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’ 

14 (B)“Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga Mukama ow’Eggye ng’abakungubaga? 15 (C)Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ”

Read full chapter