Olubereberye 19:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)n’azikiriza ebibuga ebyo, n’ekiwonvu kyonna n’abantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu.
Read full chapter
2 Bassekabaka 23:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
Read full chapter
Ebyabaleevi 19:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)“Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 22:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.