Add parallel Print Page Options

16 (A)Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.

17 (B)Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya 18 Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gw’ekibuga balaba. 19 Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. 20 (C)Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.

Read full chapter

18 (A)Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga.

Read full chapter

19 (A)Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi.

Read full chapter

13 (A)Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be.

Read full chapter

32 (A)N’amagumba ga Yusufu, abaana ba Isirayiri ge baggya e Misiri ne bagaziika e Sekemu, mu kifo ky’ettaka Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza kikumi ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu ne liba omugabo gw’abaana ba Yusufu.

Read full chapter