Add parallel Print Page Options

Ibulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange. (A)Mukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo. Naye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.”

Read full chapter