Olubereberye 25:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
Read full chapter
Obadiya 10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,
oliswazibwa.
Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
Obadiya 12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Tosaanye kusekerera muganda wo
mu biseera bye eby’okulaba ennaku,
wadde okusanyuka ku lunaku
olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,
newaakubadde okwewaana ennyo
ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
Okuva 22:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Bannamawanga temubayisanga bubi, so temubanyigirizanga, kubanga nammwe mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.
Read full chapter
Okuva 23:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Temuwalagganyanga munnaggwanga, kubanga mmwe bennyini mumanyi nga bwe kiri okuba bannaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.
Read full chapter
Ebyabaleevi 19:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 10:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.