Add parallel Print Page Options

Isaaka Abeera mu Gerali

26 (A)Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki[a] kabaka w’Abafirisuuti. (B)Ne Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga. (C)Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu. (D)Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa; (E)kubanga Ibulayimu yagondera eddoboozi lyange, n’akwata bye namukuutira, n’ebiragiro byange, n’ebigambo byange awamu n’amateeka gange.” Bw’atyo Isaaka n’abeera mu Gerali, (F)abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ng’alowooza nti, “Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo.

Bwe yamalayo ekiseera ekiwanvu, Abimereki, kabaka w’Abafirisuuti n’atunula mu ddirisa, n’alaba Isaaka ng’azannya ne Lebbeeka mukazi we. Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?”

Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ”

10 (G)Abimereki n’amugamba nti, “Kale kiki kino ky’otukoze? Omu ku basajja yandiyinzizza okusobya ku mukazi wo, wandituleeseeko omusango.”

11 (H)Awo Abimereki n’alyoka alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Buli alikwata ku musajja ono oba ku mukyala we waakuttibwa.”

12 (I)Isaaka n’asigala mu nsi omwo, n’afuna amakungula emirundi kikumi ag’ebyo bye yasiga, kubanga Mukama yamuwa omukisa. 13 (J)N’afuuka mugagga, obugagga bwe ne bweyongera n’agaggawala nnyo. 14 (K)Yalina ebisibo by’endiga bingi nnyo n’amagana g’ente, era n’abaweereza nfaafa; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya. 15 (L)Kyebaava bajjuza enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasima mu biro bya kitaawe Ibulayimu, ne baziziba.

16 (M)Ne Abimereki n’agamba Isaaka nti, “Ggenda, tuveemu kubanga otuyitiridde amaanyi.”

Abasumba ba Isaaka n’aba Abafirisuuti

17 Awo Isaaka n’avaayo n’azimba mu kiwonvu eky’e Gerali, n’abeera omwo. 18 (N)Isaaka n’azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu biseera bya Ibulayimu kitaawe, kubanga Abafirisuuti baziziba Ibulayimu bwe yamala okufa. Era ye Isaaka n’aziyita amannya gali kitaawe ge yali azituumye.

19 Naye abaddu ba Isaaka bwe basima mu kiwonvu ne bazuula oluzzi olw’ensulo, 20 (O)abasumba b’omu Gerali ne bayomba n’abasumba ba Isaaka nga bagamba nti, “Amazzi gaffe.” Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki[b], kubanga baawakana naye. 21 Kyebaava basima oluzzi olulala, era nalwo ne baluyombera, lwo kwe kuluyita Situna. 22 (P)Awo n’avaayo n’asima oluzzi olulala, olwo lwo ne bataluyombera, kyeyava alutuuma Lekobosi, ng’agamba nti, “Kubanga kaakano Mukama atuwadde ebbanga, era tujja kukulaakulanira muno.”

23 Bwe yava eyo n’agenda e Beeruseba. 24 (Q)Ekiro ekyo Mukama n’alabikira Isaaka, n’amugamba nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo, totya. Kubanga ndiwamu naawe, ndikuwa omukisa era ndyaza abaana bo ku lwa Ibulayimu omuddu wange.”

25 (R)Awo n’azimbawo ekyoto n’akoowoola erinnya lya Mukama, n’asimba eyo eweema ye. Era n’eyo abaddu be ne basimayo oluzzi.

26 (S)Mu kiseera kye kimu Abimereki n’ava mu Gerali ng’ali ne Akuzasa gwe yeebuuzangako amagezi ne Fikoli omukulu w’eggye lye, n’agenda eri Isaaka. 27 (T)Isaaka n’ababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankijjanya ne mungobaganya?”

28 (U)Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe, 29 (V)nga tolitukola kabi, nga ffe bwe tutaakakukola era nga tetuliiko kye tukukoze, wabula ebirungi era nga twakusiibula mirembe.’ Kaakano gwe oli muntu Mukama gw’awadde omukisa.”

30 (W)Awo Isaaka n’abakolera ekijjulo ne balya ne banywa. 31 (X)Ku makya ennyo ne bagolokoka ne balayiriragana, Isaaka n’abawerekerako ne bava gy’ali mirembe.

32 Ku lunaku olwo lwennyini, abaddu ba Isaaka ne bajja ne bamutegeeza eby’oluzzi lwe baasima, ne bamugamba nti, “Tuzudde amazzi.” 33 (Y)N’alutuuma Siba; erinnya ly’ekibuga kyeriva liba Beeruseba na buli kati.

34 (Z)Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana egy’obukulu, n’awasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti, ne Besimansi muwala wa Eroni naye Omukiiti. 35 (AA)Ne bakaluubiriza nnyo Isaaka ne Lebbeeka obulamu.

Footnotes

  1. 26:1 Abimereki Ono yali kabaka Abimereki mulala, eyali asikidde erinnya. Eyasooka yali yafa emyaka kinaana emabegako.
  2. 26:20 Eseki kitegeeza mpaka

Isaac and Abimelek(A)

26 Now there was a famine in the land(B)—besides the previous famine in Abraham’s time—and Isaac went to Abimelek king of the Philistines(C) in Gerar.(D) The Lord appeared(E) to Isaac and said, “Do not go down to Egypt;(F) live in the land where I tell you to live.(G) Stay in this land for a while,(H) and I will be with you(I) and will bless you.(J) For to you and your descendants I will give all these lands(K) and will confirm the oath I swore to your father Abraham.(L) I will make your descendants(M) as numerous as the stars in the sky(N) and will give them all these lands,(O) and through your offspring[a] all nations on earth will be blessed,[b](P) because Abraham obeyed me(Q) and did everything I required of him, keeping my commands, my decrees(R) and my instructions.(S) So Isaac stayed in Gerar.(T)

When the men of that place asked him about his wife, he said, “She is my sister,(U)” because he was afraid to say, “She is my wife.” He thought, “The men of this place might kill me on account of Rebekah, because she is beautiful.”

When Isaac had been there a long time, Abimelek king of the Philistines(V) looked down from a window and saw Isaac caressing his wife Rebekah. So Abimelek summoned Isaac and said, “She is really your wife! Why did you say, ‘She is my sister’?(W)

Isaac answered him, “Because I thought I might lose my life on account of her.”

10 Then Abimelek said, “What is this you have done to us?(X) One of the men might well have slept with your wife, and you would have brought guilt upon us.”

11 So Abimelek gave orders to all the people: “Anyone who harms(Y) this man or his wife shall surely be put to death.”(Z)

12 Isaac planted crops in that land and the same year reaped a hundredfold,(AA) because the Lord blessed him.(AB) 13 The man became rich, and his wealth continued to grow until he became very wealthy.(AC) 14 He had so many flocks and herds and servants(AD) that the Philistines envied him.(AE) 15 So all the wells(AF) that his father’s servants had dug in the time of his father Abraham, the Philistines stopped up,(AG) filling them with earth.

16 Then Abimelek said to Isaac, “Move away from us;(AH) you have become too powerful for us.(AI)

17 So Isaac moved away from there and encamped in the Valley of Gerar,(AJ) where he settled. 18 Isaac reopened the wells(AK) that had been dug in the time of his father Abraham, which the Philistines had stopped up after Abraham died, and he gave them the same names his father had given them.

19 Isaac’s servants dug in the valley and discovered a well of fresh water there. 20 But the herders of Gerar quarreled(AL) with those of Isaac and said, “The water is ours!”(AM) So he named the well Esek,[c] because they disputed with him. 21 Then they dug another well, but they quarreled(AN) over that one also; so he named it Sitnah.[d] 22 He moved on from there and dug another well, and no one quarreled over it. He named it Rehoboth,[e](AO) saying, “Now the Lord has given us room(AP) and we will flourish(AQ) in the land.”

23 From there he went up to Beersheba.(AR) 24 That night the Lord appeared to him and said, “I am the God of your father Abraham.(AS) Do not be afraid,(AT) for I am with you;(AU) I will bless you and will increase the number of your descendants(AV) for the sake of my servant Abraham.”(AW)

25 Isaac built an altar(AX) there and called on the name of the Lord.(AY) There he pitched his tent, and there his servants dug a well.(AZ)

26 Meanwhile, Abimelek had come to him from Gerar, with Ahuzzath his personal adviser and Phicol the commander of his forces.(BA) 27 Isaac asked them, “Why have you come to me, since you were hostile to me and sent me away?(BB)

28 They answered, “We saw clearly that the Lord was with you;(BC) so we said, ‘There ought to be a sworn agreement between us’—between us and you. Let us make a treaty(BD) with you 29 that you will do us no harm,(BE) just as we did not harm you but always treated you well and sent you away peacefully. And now you are blessed by the Lord.”(BF)

30 Isaac then made a feast(BG) for them, and they ate and drank. 31 Early the next morning the men swore an oath(BH) to each other. Then Isaac sent them on their way, and they went away peacefully.

32 That day Isaac’s servants came and told him about the well(BI) they had dug. They said, “We’ve found water!” 33 He called it Shibah,[f] and to this day the name of the town has been Beersheba.[g](BJ)

Jacob Takes Esau’s Blessing

34 When Esau was forty years old,(BK) he married Judith daughter of Beeri the Hittite, and also Basemath daughter of Elon the Hittite.(BL) 35 They were a source of grief to Isaac and Rebekah.(BM)

Footnotes

  1. Genesis 26:4 Or seed
  2. Genesis 26:4 Or and all nations on earth will use the name of your offspring in blessings (see 48:20)
  3. Genesis 26:20 Esek means dispute.
  4. Genesis 26:21 Sitnah means opposition.
  5. Genesis 26:22 Rehoboth means room.
  6. Genesis 26:33 Shibah can mean oath or seven.
  7. Genesis 26:33 Beersheba can mean well of the oath and well of seven.