Olubereberye 28:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Awo Yakobo ne yeerayirira ng’agamba nti, “Katonda bw’alibeera nange, n’ankuuma mu lugendo luno lwe ndiko, n’ampa emmere okulya era n’ebyokwambala ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange,
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 21:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Kale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa.
Read full chapter
Balam 13:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga, laba, oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
Read full chapter
Balam 16:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Awo Samusooni n’amubuulira ebyali ku mutima gwe byonna. N’amugamba nti, “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
Read full chapter
Amosi 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,
ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.
Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”
bw’ayogera Mukama.
Amosi 2:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.