Add parallel Print Page Options

14 Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe.

Read full chapter

14 (A)Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.”

Read full chapter

16 (A)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
    oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?
Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!
    Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”

Awo Abayisirayiri[a] ne beddirayo ewaabwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:16 Abayisirayiri aboogerebwako wano be b’omu bukiikakkono

(A)Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? (B)Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”

Read full chapter

16 (A)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
    era busika ki bwe tulina mu mutabani wa Yese?
Buli omu ku mmwe, addeyo mu weema ye, ayi Isirayiri!
    Mmwe ennyumba ye Dawudi mwerabirire.”

Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe.

Read full chapter