Add parallel Print Page Options

Sekemu Asobya ku Dina

34 (A)Awo Dina muwala wa Leeya gwe yazaalira Yakobo, n’agenda okukyalira abakazi ab’omu nsi eyo. Sekemu mutabani wa Kamoli Omukiiti omufuzi w’ensi eyo n’amulaba n’amukwata n’amusobyako. Omwoyo gwa Sekemu ne gutwalibwa Dina muwala wa Yakobo, n’amwagala n’ayogera naye ebigambo ebiweweevu. Sekemu n’alyoka agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala ono abeere mukazi wange.”

Yakobo bwe yawulira nga Sekemu asobezza ku muwala we Dina, n’aba mukkakkamu okutuusa batabani be abaali balabirira ebisibo ku ttale lwe badda. (B)Kamoli kitaawe wa Sekemu n’agenda eri Yakobo okwogera naye. (C)Batabani ba Yakobo ne bakomawo eka nga bamaze okukitegeera. Ne banakuwala era ne basunguwalira nnyo Sekemu olw’okukola eky’ekivve era ekitasaana mu Isirayiri.

Kyokka ye Kamoli n’ayogera nabo ng’agamba nti, “Omwoyo gwa mutabani wange gwegomba nnyo muwala wo, nkwegayirira mumuwe amuwase. Kkiriza tufumbiriganwenga, otuwe bawala bo, nammwe muwasenga bawala baffe. 10 (D)Munaabeeranga mu ffe, era mukolenga buli kye mwagala mu nsi yaffe. Mubeeremu era musuubuliremu, mugaggawale nnyo.”

11 Sekemu naye n’ayogera ne Yakobo ne bannyina ba Dina, nti, “Nsaba ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kyonna kye munansalira nzija kukibawa. 12 (E)Munsabe ebyobuko ebirabo n’ebigenderako, byonna nzija kubibawa nga bwe binaaba binsabiddwa; kye muba munkolera kwe kumpa omuwala abeere mukazi wange.”

13 Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Kamoli nga babakwenyakwenya kuba Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina. 14 (F)Ne babagamba nti, “Ekyo tetusobola kukikola okuwa mwannyinaffe omuntu atali mukomole, kubanga kya muzizo gye tuli. 15 (G)Kye muteekwa okukola, tulyoke tukkirize, kwe kufuuka nga ffe nga buli musajja mu mmwe akomolebbwa. 16 Tulyoke tubawe bawala baffe, era naffe tuwase bawala bammwe, tubeere mu mmwe tufuuke eggwanga limu. 17 Naye bwe mutakkiriza kukomolebwa, kale tunaatwala muwala waffe ne tugenda.”

Okwesasuza Olwa Dina

18 Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli ne mutabani we Sekemu. 19 (H)Era omuvubuka teyalwa kukomolebwa, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo ye yali asinga okussibwamu ekitiibwa mu baana ba Kamoli bonna. 20 (I)Awo Kamoli ne mutabani we Sekemu ne batuuka ku wankaaki[a] w’ekibuga kyabwe ne boogera n’abantu b’ekibuga kyabwe nga bagamba nti, 21 Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe. 22 Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe. 23 Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe n’ensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe.

24 (J)Abasajja bonna abaali ku mulyango ebweru w’ekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru w’omulyango gw’ekibuga n’akomolebwa.

25 (K)Bwe waayitawo ennaku ssatu, nga bakyali mu bulumi, batabani ba Yakobo: Simyoni ne Leevi bannyina Dina ne baddira ebitala byabwe ne balumba ekibuga, abaamu nga tebategedde, ne batta buli musajja. 26 Battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne beetambulira. 27 Awo batabani ba Yakobo ne bagwa ku munyago ne banyaga ekibuga olwa mwannyinaabwe. 28 Ne batwala ebisibo by’endiga, amagana g’ente, n’endogoyi, na buli ekyali mu kibuga ne ku ttale. 29 N’obugagga bwonna, n’abaana bonna awamu n’abakazi, na buli ekyali mu mayumba, byonna ne babiwamba ne babinyaga.

30 (L)Awo Yakobo n’agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde akacwano, nfuuse wa kukyayibwa abantu bonna ab’omu nsi, Abakanani n’Abaperezi. Ffe tuli batono, kale bwe baneekuŋŋaanya ne bannumba nzija kumalibwawo, nze n’ennyumba yange yonna.”

31 Bo ne bamuddamu nti, “Lwaki yayisa mwannyinaffe ng’omwenzi?”

Footnotes

  1. 34:20 wankaaki Abakadde b’ekibuga baasisinkananga ku wankaaki w’ekibuga okubaako ensonga ze bateesaako.

Dinah and the Shechemites

34 Now Dinah,(A) the daughter Leah had borne to Jacob, went out to visit the women of the land. When Shechem(B) son of Hamor(C) the Hivite,(D) the ruler of that area, saw her, he took her and raped her.(E) His heart was drawn to Dinah(F) daughter of Jacob;(G) he loved(H) the young woman and spoke tenderly(I) to her. And Shechem said to his father Hamor, “Get me this girl as my wife.”(J)

When Jacob heard that his daughter Dinah had been defiled,(K) his sons were in the fields with his livestock; so he did nothing about it until they came home.

Then Shechem’s father Hamor went out to talk with Jacob.(L) Meanwhile, Jacob’s sons had come in from the fields as soon as they heard what had happened. They were shocked(M) and furious,(N) because Shechem had done an outrageous thing in[a] Israel(O) by sleeping with Jacob’s daughter—a thing that should not be done.(P)

But Hamor said to them, “My son Shechem has his heart set on your daughter. Please give her to him as his wife.(Q) Intermarry with us; give us your daughters and take our daughters for yourselves.(R) 10 You can settle among us;(S) the land is open to you.(T) Live in it, trade[b] in it,(U) and acquire property in it.(V)

11 Then Shechem said to Dinah’s father and brothers, “Let me find favor in your eyes,(W) and I will give you whatever you ask. 12 Make the price for the bride(X) and the gift I am to bring as great as you like, and I’ll pay whatever you ask me. Only give me the young woman as my wife.”

13 Because their sister Dinah had been defiled,(Y) Jacob’s sons replied deceitfully(Z) as they spoke to Shechem and his father Hamor. 14 They said to them, “We can’t do such a thing; we can’t give our sister to a man who is not circumcised.(AA) That would be a disgrace to us. 15 We will enter into an agreement with you on one condition(AB) only: that you become like us by circumcising all your males.(AC) 16 Then we will give you our daughters and take your daughters for ourselves.(AD) We’ll settle among you and become one people with you.(AE) 17 But if you will not agree to be circumcised, we’ll take our sister and go.”

18 Their proposal seemed good to Hamor and his son Shechem. 19 The young man, who was the most honored(AF) of all his father’s family, lost no time in doing what they said, because he was delighted with Jacob’s daughter.(AG) 20 So Hamor and his son Shechem went to the gate of their city(AH) to speak to the men of their city. 21 “These men are friendly toward us,” they said. “Let them live in our land and trade in it;(AI) the land has plenty of room for them. We can marry their daughters and they can marry ours.(AJ) 22 But the men will agree to live with us as one people only on the condition that our males be circumcised,(AK) as they themselves are. 23 Won’t their livestock, their property and all their other animals become ours?(AL) So let us agree to their terms, and they will settle among us.(AM)

24 All the men who went out of the city gate(AN) agreed with Hamor and his son Shechem, and every male in the city was circumcised.

25 Three days later, while all of them were still in pain,(AO) two of Jacob’s sons, Simeon(AP) and Levi,(AQ) Dinah’s brothers, took their swords(AR) and attacked the unsuspecting city,(AS) killing every male.(AT) 26 They put Hamor and his son Shechem to the sword(AU) and took Dinah(AV) from Shechem’s house and left. 27 The sons of Jacob came upon the dead bodies and looted the city(AW) where[c] their sister had been defiled.(AX) 28 They seized their flocks and herds and donkeys(AY) and everything else of theirs in the city and out in the fields.(AZ) 29 They carried off all their wealth and all their women and children,(BA) taking as plunder(BB) everything in the houses.(BC)

30 Then Jacob said to Simeon and Levi, “You have brought trouble(BD) on me by making me obnoxious(BE) to the Canaanites and Perizzites, the people living in this land.(BF) We are few in number,(BG) and if they join forces against me and attack me, I and my household will be destroyed.”

31 But they replied, “Should he have treated our sister like a prostitute?(BH)

Footnotes

  1. Genesis 34:7 Or against
  2. Genesis 34:10 Or move about freely; also in verse 21
  3. Genesis 34:27 Or because