Add parallel Print Page Options

Ezadde lya Esawu

36 (A)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.

(B)Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.

(C)Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.

(D)Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. (E)Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. (F)Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.

Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.

10 Batabani be baali:

Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.

11 (G)Batabani ba Erifaazi baali

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.

12 (H)Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.

13 Bano be batabani ba Leweri:

Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.

14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali

Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.

15 (I)Bano be bakulu b’enda ya Esawu:

Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, 16 (J)ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.

17 (K)Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:

Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.

18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:

Yewusi, ne Yalamu ne Koola.

19 (L)Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.

20 (M)Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.

22 Batabani ba Lotani baali

Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.

23 Batabani ba Sobali be ba

Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.

24 Aba Zibyoni, be ba

Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.

25 Abaana ba Ana be ba

Disoni ne Okolibama omuwala.

26 Bo batabani ba Disoni be ba

Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.

27 Aba Ezeri be ba

Birani, ne Zaavani ne Akani.

28 Ate aba Disani be ba

Uzi ne Alani.

29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli:

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.

Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.

Bakabaka ba Edomu

31 (N)Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:

32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.

33 (O)Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.

34 (P)Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.

35 (Q)Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.

36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.

37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.

38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.

39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.

40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:

Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,

41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,

42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,

43 ne Magidiyeri, ne Iramu.

Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.

Esau’s Descendants(A)(B)

36 This is the account(C) of the family line of Esau (that is, Edom).(D)

Esau took his wives from the women of Canaan:(E) Adah daughter of Elon the Hittite,(F) and Oholibamah(G) daughter of Anah(H) and granddaughter of Zibeon the Hivite(I) also Basemath(J) daughter of Ishmael and sister of Nebaioth.(K)

Adah bore Eliphaz to Esau, Basemath bore Reuel,(L) and Oholibamah bore Jeush, Jalam and Korah.(M) These were the sons of Esau, who were born to him in Canaan.

Esau took his wives and sons and daughters and all the members of his household, as well as his livestock and all his other animals and all the goods he had acquired in Canaan,(N) and moved to a land some distance from his brother Jacob.(O) Their possessions were too great for them to remain together; the land where they were staying could not support them both because of their livestock.(P) So Esau(Q) (that is, Edom)(R) settled in the hill country of Seir.(S)

This is the account(T) of the family line of Esau the father of the Edomites(U) in the hill country of Seir.

10 These are the names of Esau’s sons:

Eliphaz, the son of Esau’s wife Adah, and Reuel, the son of Esau’s wife Basemath.(V)

11 The sons of Eliphaz:(W)

Teman,(X) Omar, Zepho, Gatam and Kenaz.(Y)

12 Esau’s son Eliphaz also had a concubine(Z) named Timna, who bore him Amalek.(AA) These were grandsons of Esau’s wife Adah.(AB)

13 The sons of Reuel:

Nahath, Zerah, Shammah and Mizzah. These were grandsons of Esau’s wife Basemath.(AC)

14 The sons of Esau’s wife Oholibamah(AD) daughter of Anah and granddaughter of Zibeon, whom she bore to Esau:

Jeush, Jalam and Korah.(AE)

15 These were the chiefs(AF) among Esau’s descendants:

The sons of Eliphaz the firstborn of Esau:

Chiefs Teman,(AG) Omar, Zepho, Kenaz,(AH) 16 Korah,[a] Gatam and Amalek. These were the chiefs descended from Eliphaz(AI) in Edom;(AJ) they were grandsons of Adah.(AK)

17 The sons of Esau’s son Reuel:(AL)

Chiefs Nahath, Zerah, Shammah and Mizzah. These were the chiefs descended from Reuel in Edom; they were grandsons of Esau’s wife Basemath.(AM)

18 The sons of Esau’s wife Oholibamah:(AN)

Chiefs Jeush, Jalam and Korah.(AO) These were the chiefs descended from Esau’s wife Oholibamah daughter of Anah.

19 These were the sons of Esau(AP) (that is, Edom),(AQ) and these were their chiefs.(AR)

20 These were the sons of Seir the Horite,(AS) who were living in the region:

Lotan, Shobal, Zibeon, Anah,(AT) 21 Dishon, Ezer and Dishan. These sons of Seir in Edom were Horite chiefs.(AU)

22 The sons of Lotan:

Hori and Homam.[b] Timna was Lotan’s sister.

23 The sons of Shobal:

Alvan, Manahath, Ebal, Shepho and Onam.

24 The sons of Zibeon:(AV)

Aiah and Anah. This is the Anah who discovered the hot springs[c](AW) in the desert while he was grazing the donkeys(AX) of his father Zibeon.

25 The children of Anah:(AY)

Dishon and Oholibamah(AZ) daughter of Anah.

26 The sons of Dishon[d]:

Hemdan, Eshban, Ithran and Keran.

27 The sons of Ezer:

Bilhan, Zaavan and Akan.

28 The sons of Dishan:

Uz and Aran.

29 These were the Horite chiefs:

Lotan, Shobal, Zibeon, Anah,(BA) 30 Dishon, Ezer and Dishan. These were the Horite chiefs,(BB) according to their divisions, in the land of Seir.

The Rulers of Edom(BC)

31 These were the kings who reigned in Edom before any Israelite king(BD) reigned:

32 Bela son of Beor became king of Edom. His city was named Dinhabah.

33 When Bela died, Jobab son of Zerah from Bozrah(BE) succeeded him as king.

34 When Jobab died, Husham from the land of the Temanites(BF) succeeded him as king.

35 When Husham died, Hadad son of Bedad, who defeated Midian(BG) in the country of Moab,(BH) succeeded him as king. His city was named Avith.

36 When Hadad died, Samlah from Masrekah succeeded him as king.

37 When Samlah died, Shaul from Rehoboth(BI) on the river succeeded him as king.

38 When Shaul died, Baal-Hanan son of Akbor succeeded him as king.

39 When Baal-Hanan son of Akbor died, Hadad[e] succeeded him as king. His city was named Pau, and his wife’s name was Mehetabel daughter of Matred, the daughter of Me-Zahab.

40 These were the chiefs(BJ) descended from Esau, by name, according to their clans and regions:

Timna, Alvah, Jetheth, 41 Oholibamah, Elah, Pinon, 42 Kenaz, Teman, Mibzar, 43 Magdiel and Iram. These were the chiefs of Edom, according to their settlements in the land they occupied.

This is the family line of Esau, the father of the Edomites.(BK)

Footnotes

  1. Genesis 36:16 Masoretic Text; Samaritan Pentateuch (also verse 11 and 1 Chron. 1:36) does not have Korah.
  2. Genesis 36:22 Hebrew Hemam, a variant of Homam (see 1 Chron. 1:39)
  3. Genesis 36:24 Vulgate; Syriac discovered water; the meaning of the Hebrew for this word is uncertain.
  4. Genesis 36:26 Hebrew Dishan, a variant of Dishon
  5. Genesis 36:39 Many manuscripts of the Masoretic Text, Samaritan Pentateuch and Syriac (see also 1 Chron. 1:50); most manuscripts of the Masoretic Text Hadar