Olubereberye 39:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yusufu Ateekebwa mu Kkomera
19 (A)Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ng’agamba nti, “Bw’ati ne bw’ati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka.
Read full chapter
Eseza 2:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula.
Read full chapter
Eseza 7:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Awo Kabaka n’agolokoka ng’aliko ekiruyi, n’aleka wayini we, n’alaga ebweru mu nnimiro ey’omu lubiri. Kamani bwe yalaba nga Kabaka amaliridde okumubonereza, n’asigala emabega okusaba obulamu bwe eri Nnabagereka Eseza.
Read full chapter
Engero 19:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.