Add parallel Print Page Options

50 (A)Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira. 51 (B)Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.” 52 (C)Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”

Read full chapter

20 (A)Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.

Read full chapter

Ekika kya Lewubeeni

(A)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye.

Read full chapter

(A)kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu[a], bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:4 Manase ne Efulayimu Yakobo yali yeetwalidde abaana ba Yusufu okuba ababe (Lub 48:5). Noolwekyo baali bateekwa okugabana ku by’obusika ng’abaana abalala bonna aba Yakobo.