Add parallel Print Page Options

51 (A)Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.” 52 (B)Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”

Read full chapter

10 Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”

Read full chapter

22 (A)Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”

Read full chapter

21 (A)Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

Read full chapter