Add parallel Print Page Options

(A)Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.

Read full chapter

25 (A)asazaamu abalaguzi bye balagudde
    era abalogo abafuula abasirusiru.
Asaabulula eby’abagezi
    n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.

Read full chapter

(A)Awo kabaka n’atumya abasawo, n’abafumu, n’abalaguzi n’Abakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka.

Read full chapter

10 (A)Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo.

Read full chapter