Add parallel Print Page Options

30 (A)Awo Yusufu n’ayanguwa okuva mu maaso gaabwe, kubanga omutima gwe gwalumwa olwa muganda we, n’anoonya ekifo w’anaakabira. N’alinnya mu kisenge kye n’akaabira eyo.

Read full chapter

15 (A)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
    n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
    naye nze sirikwerabira.

Read full chapter

20 (A)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
    omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
    naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
    nnina ekisa kingi gy’ali,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
    Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
    Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
    Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.

Read full chapter