Add parallel Print Page Options

(A)Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa;

Read full chapter

10 (A)ojja kubeera mu Goseni[a], olibeera kumpi nange. Ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina;

Read full chapter

Footnotes

  1. 45:10 Goseni kisangibwa mu Misiri, Omugga Kiyira we luyingirira mu nnyanja ennene, Meditereniyaani, era kifo kijimu nnyo.

26 (A)Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga.

Read full chapter

27 (A)Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu[a].

Read full chapter

Footnotes

  1. 46:27 Awamu kigamba nsavu mu bataano

(A)Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu[a]; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:5 ebiwandiiko ebimu bigamba nsanvu; kyokka ebiwandiiko ebyasangibwa mu Nnyanja ey’Omunnyo bigamba nsanvu mu bataano

22 (A)Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.

Read full chapter