Add parallel Print Page Options

10 (A)Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
    okutuusa Siiro lw’alijja;
era oyo amawanga gonna
    gwe ganaawuliranga.

Read full chapter

12 Amaaso ge galimyuka wayini,
    n’amannyo ge galitukula okusinga amata.

Read full chapter

16 (A)“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”

Read full chapter

12 (A)Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’

Read full chapter

21 (A)Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama.

Read full chapter

(A)Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”

Read full chapter

18 (A)ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’ 

Read full chapter

(A)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
    Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
    ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.

Read full chapter

(A)“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
    newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
    omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
    ng’ensi tennabaawo.”

Read full chapter

(A)“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
    toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
    alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”

Read full chapter

31 Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”

Read full chapter