Add parallel Print Page Options

Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”

Read full chapter

(A)Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.

Read full chapter

32 (A)kino Mukama ky’agamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’abantu b’omu nju ye. Tewaliba n’omu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bw’ayogera Mukama.’ ”

Read full chapter