Add parallel Print Page Options

25 (A)N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,

“Kanani akolimirwe,
    abeere muddu wa baddu eri baganda be.”

26 Era n’agamba nti,

Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa,
    Kanani abeere muddu we.”

Read full chapter

63 (A)Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.

Read full chapter

12 (A)Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani kubanga baali bamaliridde okusigala mu nsi eyo.

Read full chapter

21 (A)Naye abasajja ba Benyamini tebaagoba Bayebusi abaabeeranga mu Yerusaalemi noolwekyo Abayebusi babeera wamu n’abasajja ba Benyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.

Read full chapter

27 (A)Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo.

Read full chapter

29 (A)Era ne Efulayimu teyagoba Bakanani naye yabakkiriza okubeera awamu naye mu Gezeri.

Read full chapter

55 Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali:

bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,

Read full chapter

58 (A)Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).

Read full chapter