Add parallel Print Page Options

(A)nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 (B)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”

12 (C)Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.

14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 (D)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 (E)Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”

Read full chapter

(A)Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno.

Read full chapter

Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba.

Read full chapter

13 Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato.

Read full chapter