Add parallel Print Page Options

14 (A)Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. 15 Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. 16 Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.

Read full chapter

35 (A)Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi.

Read full chapter