Add parallel Print Page Options

(A)Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”

Read full chapter

15 (A)Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi.

Read full chapter

12 (A)Bwe baali bakyali batono,
    nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,

Read full chapter

(A)Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu.

Read full chapter

13 (A)Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze.

Read full chapter