Add parallel Print Page Options

(A)Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu.

Read full chapter

21 (A)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo.

Read full chapter

24 (A)“ ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
    akukuume;

Read full chapter

(A)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;

Read full chapter

(A)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(B)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Read full chapter

(A)Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.”

Read full chapter

(A)Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”

Read full chapter

19 (A)Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
    oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
    Asuubiza n’atatuukiriza?

Read full chapter