Add parallel Print Page Options

20 (A)Awo Kamoli ne mutabani we Sekemu ne batuuka ku wankaaki[a] w’ekibuga kyabwe ne boogera n’abantu b’ekibuga kyabwe nga bagamba nti, 21 Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe. 22 Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe. 23 Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe n’ensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe.

24 (B)Abasajja bonna abaali ku mulyango ebweru w’ekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru w’omulyango gw’ekibuga n’akomolebwa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 34:20 wankaaki Abakadde b’ekibuga baasisinkananga ku wankaaki w’ekibuga okubaako ensonga ze bateesaako.

(A)Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”

Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”

Read full chapter