Add parallel Print Page Options

11 (A)Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange;
    amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo.
    Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 (B)Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
    era oli luzzi olwasibibwa[a], ensulo eyateekebwako akabonero.
13 (C)Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
    erina ebibala byonna eby’omuwendo,
    ne kofera n’emiti egy’omugavu
14     (D)n’omugavu ne kalikomu,
    ne kalamo ne kinamoni,
    n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
    ne mooli ne alowe,
    wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:12 Enzizi zaasibibwanga okukuuma amazzi gaamu nga mayonjo.