Add parallel Print Page Options

Owoomukwano

(A)Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;
    nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.
Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,
    Nywedde wayini wange n’amata gange.

Abemikwano

Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.

Omwagalwa

(B)Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.
    Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,
“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,
    owe wange ataliiko bbala,
kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
    n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
Nziggyeko ekkooti yange,
    nnaagyambala ntya nate?
Nanaabye ebigere,
    nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,
    omutima gwange ne gubuukabuuka.
(C)Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,
    emikono gyange nga gitonnya mooli,
n’engalo zange nga zikulukuta mooli,
    ku minyolo gy’ekufulu.
(D)Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,
    naye muganzi wange ng’avuddewo,
    yeetambulidde.
Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.
    Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
(E)Abakuumi baansanga
    bwe baali nga balawuna mu kibuga;
baankuba, ne bandeetako ebinuubule,
    ne batwala n’ekyambalo kyange,
    abasajja abo abakuuma bbugwe.
(F)Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
    mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
    gy’ali bwe kunzita.

Abemikwano

(G)Owange, kiki muganzi wo ky’alina
    kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?
Kiki muganzi wo kyasinza abalala
    n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?

Omwagalwa

10 (H)Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,
    atabula ne mu bantu omutwalo.
11 Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;
    n’enviiri ze zirimu amayengo,
    era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 (I)Amaaso ge gali ng’amayiba
    ku mabbali g’emigga egy’amazzi,
agaanaazibwa n’amata,
    ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13 (J)Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,
    obuleeta akaloosa akalungi.
Emimwa gye giri ng’amalanga
    agakulukuta mooli.
14 (K)Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu
    egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.
Omubiri gwe guli ng’amasanga
    amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15 (L)Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
    ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
    omulungi ng’emivule gyayo.
16 (M)Enjogera ye mpomerevu,
    weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
    mmwe abawala ba Yerusaalemi.