Add parallel Print Page Options

Abemikwano

(A)Muganzi wo alaze wa,
    ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
    tumukunoonyezeeko?

Omwagalwa

(B)Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
    mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
    n’okunoga amalanga.
(C)Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
    anoonyeza mu malanga.

Owoomukwano

(D)Oli mubalagavu nga Tiruza,[a]
    omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,
    era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
(E)Tontunuulira nnyo
    kubanga amaaso go gantawanya.
Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,
    eziserengeta okuva e Gireyaadi.
(F)Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga
    eziva okunaazibwa;
buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
    so tewali eri yokka.
(G)Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,
    buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
(H)Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,
    n’abazaana kinaana,
    n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
(I)ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
    mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
    okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
    bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.

Abemikwano

10 Ani ono alabika ng’emmambya,
    omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,
    alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?

Owoomukwano

11 (J)Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza
    okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,
okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,
    n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
12 Bwe nnali nkyali awo
    emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.

Abemikwano

13 (K)Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;
    komawo, komawo tukutunuleko.

Owoomukwano

Lwaki mutunuulira Omusulamu
    ng’abali ku mazina ga Makanayimu?

Footnotes

  1. 6:4 Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono