Add parallel Print Page Options

Omugezi n’Omusirusiru

10 (A)Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi,
    bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu,
    naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
(B)Ne bw’aba ng’atambula,
    amanyibwa nga talina magezi,
    era buli amulaba agamba nti musirusiru.
(C)Mukama wo bw’akunyiigiranga,
    tomulaganga busungu;
    okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.

Ekibi ekirala kye nalaba,
    kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
(D)nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava,
    naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
(E)Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi,
    songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.

(F)Asima ekinnya alikigwamu,
    n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
(G)Oyo ayasa amayinja gamulumya,
    n’oyo ayasa enku zimulumya.

10 Embazzi bwe tebaako bwogi,
    n’etewagalwa,
agitemya ateekwa okufuba ennyo,
    naye obumanyirivu bwe buwangula.

11 (H)Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa,
    omufuusa talina kyafunamu.

12 (I)Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira,
    naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
13 Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa,
    ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
14     (J)Omusirusiru asavuwaza ebigambo.

Tewali amanyi birijja,
    kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?

15 Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi,
    n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.

16 (K)Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu,
    nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
17 (L)Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira,
    ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu,
    olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.

18 (M)Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya,
    n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.

19 (N)Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka,
    ne wayini yeeyagaza obulamu,
    naye ensimbi y’esobola byonna.

20 (O)Tokolimira kabaka mu mutima gwo
    newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo,
kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo
    nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.

10 As dead flies give perfume a bad smell,
    so a little folly(A) outweighs wisdom and honor.
The heart of the wise inclines to the right,
    but the heart of the fool to the left.
Even as fools walk along the road,
    they lack sense
    and show everyone(B) how stupid they are.
If a ruler’s anger rises against you,
    do not leave your post;(C)
    calmness can lay great offenses to rest.(D)

There is an evil I have seen under the sun,
    the sort of error that arises from a ruler:
Fools are put in many high positions,(E)
    while the rich occupy the low ones.
I have seen slaves on horseback,
    while princes go on foot like slaves.(F)

Whoever digs a pit may fall into it;(G)
    whoever breaks through a wall may be bitten by a snake.(H)
Whoever quarries stones may be injured by them;
    whoever splits logs may be endangered by them.(I)

10 If the ax is dull
    and its edge unsharpened,
more strength is needed,
    but skill will bring success.

11 If a snake bites before it is charmed,
    the charmer receives no fee.(J)

12 Words from the mouth of the wise are gracious,(K)
    but fools are consumed by their own lips.(L)
13 At the beginning their words are folly;
    at the end they are wicked madness—
14     and fools multiply words.(M)

No one knows what is coming—
    who can tell someone else what will happen after them?(N)

15 The toil of fools wearies them;
    they do not know the way to town.

16 Woe to the land whose king was a servant[a](O)
    and whose princes feast in the morning.
17 Blessed is the land whose king is of noble birth
    and whose princes eat at a proper time—
    for strength and not for drunkenness.(P)

18 Through laziness, the rafters sag;
    because of idle hands, the house leaks.(Q)

19 A feast is made for laughter,
    wine(R) makes life merry,
    and money is the answer for everything.

20 Do not revile the king(S) even in your thoughts,
    or curse the rich in your bedroom,
because a bird in the sky may carry your words,
    and a bird on the wing may report what you say.

Footnotes

  1. Ecclesiastes 10:16 Or king is a child