Add parallel Print Page Options

(A)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
    okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
    ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
(B)Okunakuwala kusinga okuseka,
    kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
(C)Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
    naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.

Read full chapter

17 (A)Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
    era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
    era wandeetera okwekyawa.

Read full chapter