Omubuulizi 9:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.
Read full chapter
Zabbuli 6:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
Zabbuli 88:10-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?
Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 (B)Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe
n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
Zabbuli 115:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Abafu tebatendereza Mukama,
wadde abo abaserengeta emagombe.
Zabbuli 30:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.