Add parallel Print Page Options

13 (A)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.

Read full chapter

48 (A)Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu.”

Read full chapter

Okuwa Abaavu

(A)“Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”

Read full chapter

(A)N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti,

“ ‘Kitaffe,[a]
Erinnya lyo litukuzibwe,
obwakabaka bwo bujje.

Read full chapter

Footnotes

  1. 11:2 Ebitabo ebimu bigamba Kitaffe ali mu ggulu

32 (A)“Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.

Read full chapter

15 (A)Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.”

Read full chapter

Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.

Read full chapter

17 (A)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno.

Read full chapter

(A)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo.

Read full chapter

Abaana ba Katonda

(A)Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.

Read full chapter