Add parallel Print Page Options

(A)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

(A)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

Read full chapter

23 (A)Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi.

Read full chapter

19 (A)Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,
    obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,
kiriba nga Sodomu ne Ggomola
    Katonda bye yawamba.

Read full chapter

40 (A)Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola
    n’ebibuga ebiriraanyeewo,”
    bw’ayogera Mukama,
“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;
    tewaliba n’omu alikisigalamu.

Read full chapter