Add parallel Print Page Options

17 (A)Mukama Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.

Read full chapter

(A)Kaakano muleke mbabuulire
    kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.
Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.
    Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
(B)Era ndigireka n’ezika,
    sirigirima wadde okugisalira.
    Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.
Ndiragira n’ebire
    obutatonnyesaamu nkuba.

(C)Ennyumba ya Isirayiri
    y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.
Abantu ba Yuda
    y’ennimiro gye yasiima.
Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.
    Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.

Read full chapter

(A)Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, (B)era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. (C)Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 (D)era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

Read full chapter