Add parallel Print Page Options

12 (A)Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”

Read full chapter

(A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’

Read full chapter

17 (A)Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu.

Read full chapter

18 (A)Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera Mukama.’ ”

Read full chapter

(A)Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bw’ayogera Mukama Katonda, naye buli gy’olaga nnaakuyambanga osigale ng’oli mulamu.’ ”

Read full chapter