Add parallel Print Page Options

17 (A)“Kino ky’oba obagamba nti,

“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
    emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
    bafunye ekiwundu ekinene,
    ekintu eky’amaanyi.

Read full chapter

13 (A)Nnyinza kugamba ki,
    era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
    ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
    okukusanyusa ggwe
    Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
    kale ani ayinza okukiwonya?

Read full chapter

(A)Bonna abandaba banduulira,
    era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
(B)“Yeesiga Mukama;
    kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
    kale nno amulokole!”

Read full chapter

(A)Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
    nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe[a] gwange.

Read full chapter

Footnotes

  1. 16:4 Okunyeenyeza omuntu omutwe kyalaganga nga bw’onyoomye omuntu oyo. Kyali kivumo

25 (A)Abandoopaloopa bansekerera;
    bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

Read full chapter