Yeremiya 18:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
era ne banyeenya emitwe gyabwe.
Okukungubaga 1:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Mukama mutuukirivu,
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
batwalibbwa mu busibe.
Isaaya 13:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Noolwekyo ndikankanya eggulu,
era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,
olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,
ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.
Yeremiya 30:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Obusungu bwa Mukama obubuubuuka
tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezirijja,
kino mulikitegeera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.